Eyaliko omubaka mu Palamenti ya East Africa era nga y’amyuka pulezidenti wa DP Fred Mukasa Mbidde waakuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Buweekula County oluvannyuma lw’okusenga e Mubende. Mbidde agamba nti waakukozesa obukugu bwalina mu byamateeka okulwanyisa ekibbattaka mu kitundu kino.