Obuwanguzi bwa Kasolo: E Masaka bayisizza ebivvulu okumukulisa, baliko bye bamusabye

Joseph Tumwesigye
1 Min Read

Abamu ku bakulembeze ba NRM e Masaka baagala minisita omubeezi ow’ebyokutereka Haruna Kasolo nga ye yawangudde eky’amyuka Ssentebe wa NRM mu Buganda mu kulonda kw’ekibiina, atandikire ku kukumaakuma bannakibiina abaawangulwa mu kamyufu k’ekibiina abeesomye okwesimbawo ku bwannamunigina. 

Bano basanyufu nti abantu babiri abava mu kitundu kino baafunye ebifo ku lukiiko olwokuntikko mu kibiina kino be baagala bateeke essira ku kunyweza obumu ekibiina kisobole okufuna obuwanguzi mu kalulu ka 2026. 

Leero wabaddewo okuyisa ebivvulu mu kibuga Masaka nga bano bajaganya obuwanguzi w’ababiri bano

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *