Olwaleero akakiiko k’eby’okulonda lwekatandise okusunsula abanaavuganya mu kalulu ka bonna kumutendera gwa municipality n’amagombolola.E Wakiso abeegwanyiza obwa Kansala n’obwa meeya bakedde kweyiwa ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda nga mu bano mwemuli munakibiina ki NUP Norman Kaboggoza, Julius Mutebi owa PFF ne Fabrice Rulinda owa NRM n’abalala nga bonna bawera nga bwebagenda okukolerera okukyusa embeera z’abantu baabwe.