Banna NRM mu district ye Sironko balumye n’ogwengulo mu kawefube wokukakasa nga bezza obukulembeze bw’ekitundu kino mu kulonda okujja obwatwalibwa ab’oludda oluvuganya kati kumpi emyaka 20.
Abakulembeze mu kibiina ki NRM nga bakulembedwamu amyuuka atekeratekera ekibiina Rose Namayanja olunaku lw’eggulo baasiibye Sironko nga baperereza bonna abaagwa mu kamyuufu k’ekibiina obutesimbawo ku bwanamunigina,bagatte amaanyi nga bawagire abaafuna bendera sikulwa nga aboludda oluvuganya baddamu okubamegga.
OKWEDDIZA SIRONKO: NRM esabye abaagwa mu kamyufu obuteesimbawo
0 Min Read
Leave a review

Trending News
Recent Updates
No posts found