Poliisi e Mubende ekutte omusajja abadde yeefuula omusawo ku ddwaliro ekkulu elye Mubende nabba abalwadde.Omusajja ono okukwatibwa kyaddiridde abalwadde n’abajanjabi okwekubira endulu olwensimbi enyingi ezibajibwako abasawo saako n’okubula kwebintu byabwe nga amasimu. Ono akadde konna agenda kuggulwako gwakwefuula kyatali nanyaga abantu.