Akwatidde ekibiina ki National Peasant Party bendera okuvuganya ku bwa Pulezidenti Robert Kasibante asiibye mu disitulikiti okuli Bushenyi ne Rubiriizi nga akuyega bantu beeno okumuyiira akalulu mu mwaka 2026 asobole okufuuka Pulezidenti we gwanga.
Ono abuulidde abantu nti singa afuna obuyinza wakufuba okulaba nga afaayo nyo ku mbeera z’abantu , kko n’okukakasa nti eby’obulamu n’ebyenjigiriza bikyuka.
