Akulira akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama agamba nti bakola butaweera okulaba bakakasa emikono gy’abamu ku beegwanyiza okuvuganya ku ky’omukulembeze w’eggwanga, basobole okusunsulwa.Abamu ku bano okuli Jimmy Akena owa UPC, Mubarak Munyagwa owa Common Mans’ Party ne Muhammad Nsereko babadde tebannakkirizibwa kusunsulwa ekibalese nga bakukkuluma. Enkya akakiiko lwekakomekkereza enteekateeka y’okusunsula abeegwanyiza ekyomukulembeze w’eggwanga.