Ab’enganda z’abantu be baayokera mu nju mu disitulikiti ye Kyegegwa beekubidde enduulu
Ab’enganda z’abantu musanvu abaayokerwa mu nnyumba ku kyalo Kiremba mu ggombolola ye Ruyonza mu disitulikiti ye Kyegegwa bali mu kusattira oluvannyuma lw’abantu abaakwatibwa olw’ekikolwa kino okuyimbulwa nga kati batya nti bandibakolako obulabe.Bano beemulugunyizza ku ngeri omusango gw’ettemu eryakolwa ku bantu baabwe gye gukwatiddwamu era e basaba gavumenti ebeeko ky’ekola basobole okufuna obwenkanya.David Bukenya y’alina ebisingawo.