Abaasengulirwa e E Munambutya:Ettaka lye baabagulira liriko enkaayana
Abantu abawangaalira mu nkambi ye Bunambutye, gavumenti wezze ebudamiza abantu abazze basimattuka okuyigulukuka kw’ettaka mu bitundu bya Elgon bakitegedde nti baakugira nga bakyali mu nkambi eno okumala ebbanga.Kino kiddiridde gavumenti okuggya enta mu by’okugula ettaka gavumenti lyebadde eyagala okusengulirako abantu bano oluvannyuma lw’okukizuula nti liriko enkaayana .Minisita Omubeezi ow’ebigwabitalaze Lilian Aber bwe yakyaddeko mu nkambi eno eggulo yategeezezza nti gavumenti kati etandise bupya okunoonya ettaka eddala .