Okuwambibwa Kwa Eddie Mutwe:Poliisi egamba nayo temanyi gyali
Abakulu mu kibiina ki National Unity Platform bagamba nti baakugenda mu kkooti okwekubira enduulu ssinga essaawa 48 zigwaako nga tebannamanya mayitire ga Eddie Ssebuwuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe, gwe bagamba nti yandiba nga yawambiddwa ab'ebyokwerinda Bano era batubuulidde nti Ssebuwuufu bwe yawambiddwa wamu n'omuwagizi omulala amanyiddwa nga Kassimu Ssebudde abamu gwe bamanyi nga Kunta NUP Egamba bino byonnna bigendereddwamu kubaggya ku mulamwa wabula nga ssibakupondooka Yo Poliisi etubuulidde nga bwetamanyi mayitire ga Ssebuwuufu.