Okubaka kw’ebika by’abaganda kutandise okweyongeramu ebbugumu
Bazukkulu ba Mutasingwa abeddira Embwa baakubye Ennyonyi Ennyange ggoolo 26-21 okwesogga oluzannya oluddirira olw’akamalirizo mu mpaka z’ebika bya Baganda ez’okubaka omulundi ogwasookedde ddala.Bano baakuttunka n’ekika ky’Engeye mu luzannya oluddirira olwakamalirizo ku Lwomukaaga luno e Wankulukuku.