Olutalo Lw’ebifo e Sembabule:Ssekikubo ssi musanyufu ne Kuteesa
Omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo akukkulumidde amagye agakuuma omukulembeze w’eggwanga olw’engeri gye geeyisizzaamu ku lukungaana omukulembeze w’eggwanga lwe yakubye mu tawuni ye Ssembabule.
Ssekikubo yeewuunya engeri abeggye lino gye baavudde ku mulimu gw’okukuuma omukulembeze w’eggwanga negeeyingiza mu by’obufuzi by’ekitundu.
Kati ono agamba nti tajja kutuula butuuza nga nebwekiba kya kugenda mu kkooti wakugenda okwekubira enduulu ku byamutuusiddwako .