ASHRAF KIBERU ALIWA? Eyabula e Kyengera yeeraliikirizza aba famire ye
E Kyengera waliwo aba famire abali mu kusattira oluvannyuma lw’okumala ebbanga lya wiiki nnamba nga tebalaba muntu waabwe.Ashraf Kiberu nga muvuzi wa Sipesulo yabula ku lwokubiri lwa wiiki ewedde bwe yali agenze ku gigye.Poliisi etubuulidde nti eri mukunoonyereza okuzuula amayitire nga Kiberu wabula esabye abantu babulijjo bagiyambeko.