Nja kwabya ebyama byammwe - Byanyima alabudde NRM ku Besigye
Winnie Byanyima, mukyala wa Dr Kizza Besigye agamba nti tagenda kukoowa kuwolereza bba kubanga akimanyi bulungi emisango egyamusibya mijweteeke. Ono asuubizza n'okwabya ebyama bya gavumenti by'abadde asirikidde okumala ebbanga singa abakulu tebakirowoozako kuyimbula bba. Byanyima ayogeddeko ne bannamawulire mu makaage e kasangati.