Poliisi egamba waliwo by’e yazuddeyo mu kikwekweto ku wofiisi za NUP
Bannakibiina ki NUP bawakanyizza byonna ebyayogeddwa poliisi nti wofiisi zaabwe zaabaddemu ebintu ebimenya amateeka nga ky'ekyabawalirizza okuzimenya babiggyeyo. Enziji ezisinga e Kamwokya n'e Kavule, zonna zaamenyeddwa n'ebintu bingi nebitwalibwa omuli kompyuta, ebyambalo by'ekibiin, ensimbi enkalu n'ebirala. Bano bagumu nti bino bikolebwa gavumenti kubajja ku mulamwa.