Harriet Nabutuulo: Motoka yamugongobaza n’atayambibwa
Ab’oluganda lw’omukazi eyatomerwa motoka mu bitundu by'e Ndeeba mu mwaka gwa 2022 nebatafuna kuyambibwa kwona mu kkooti baagala bafune obwenkanya. Bukyanga bawaaba omusango mu kkoti y'e Makindye, wiiki gyetukuba amabega, gye basoose okulinnyako mu kkooti olw'okuba nti omuwaabi wa gavumenti eyabakwasiibwa, buli lwe bajjanga mu kkooti nga abalagira kusigala wabweru ye abimalirize era omulamuzi buli lweyabakowoolanga nga tebalabikako. Omukazi ayakoneebwa yagongobala nga talina kyayinza kwekolera, so nga kamukoona, ye yagaana okuteesa n'aba famire okubayambako mu kumujjanjaba.