“DPC ATUVIIRE”: Abatuuze be Namayingo bambalidde DPC waabwe
Waliwo ekiwandiiko omuli emikono enkumi ttaano abatuuze mu disitulikiti ye Namayingo kye bakwanze RDC nga baagala DPC w’ekitundu kino akyusibwe. Mu lukungaana lwe bakubye ku kyalo Kifuyo ekisangibwa mu ggombolola ye Budini abatuuze balumirizza DPC olwokwenyigira mu buli bwenguzi n’okutulugunya abatuuze.