Eby’okutta omupoliisi e Ibanda: Abantu 8 basimbiddwa mu kkooti, bagguddwako gwa butemu
Abantu munaana abateberezebwa okwetaba mu kutta omuserikale Sulaiman Chemonges ku kyalo Kyembogo mu disitulikiti ye Ibanda basimbiddwa mu kkooti olunaku olwaleero.Bano bagguddwako gwa butemu,kyoka omulamuzi tabaganyiza kubaako kye banyega kubanga omusango ogubavunaanwa gwa Nnaggomola.