“Emmwanyi erina okugenda”, akabondo ka NRM kakalambidde
Akabondo k'ababaka ba palamenti ab'ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM bagamba baakuwagira gavumenti okugenda mu maaso n’ebbago erigenderera okusattulula ekitongole ky'emmwanyi ki UCDA era tewali ayinza kubatiisatiisa kutuuka kwejjulula ku kusalawo kwabwe kuno. Kino kizzeewo oluvannyuma lw'abamu ku babaka okuva mu Buganda n'ebitongole ebirala okusaba gavumenti okuggyayo ebbago lya Uganda National Coffee Amendment Bill 2024.Akulira akabondo kano Dennis Hamson Obua alabudde n'ababaka b'oludda oluvuganya okwewala ebikolwa ebimenya amateeka mu kuteesa mu palamenti ebbago lino bwe linaaba likomezeddwawo okwongera okwekenneenyezebwa.