Abatanafuna nsako y’abayizi ba gavumenti e Makerere bagobwa mu mayumba
Ekya gavumenti okulwisaayo ensako y'abayizi b'eweerera ku ssetendekero wa Makerere kitandise okuviirako bangi okugobwa mu mayumba gye bapangisa.Ensimbi zino abayizi batubuulidde nti kwe balya gattako okusula nga kati ebbanga ery'emyezi esatu lye bamaze nga tebalaba ku nnusu, babulako kwebaka ku nguudo kubanga n'emikwano gibakooye.