Ab'oluganda e Kagadi basse banaabwe lwa kidiinidiini
Katutandikire e Kagadi eyo mu ggombolola y'e Kyaterekera, abavubuka babiri bwe basse abantu ba famire yaabwe 8 nga babalanga kugaana kwegatta nti Kidiinidiini kyabwe kye baatandikawo.Abantu bano basooka kwewaggula ku baakika nebagenda nebakola enzikiriza gye batuuka GOD HOLY SPIRIT SON OF MAN era baludde nga bakaka abantu baabwe abalala okubeegattako.Kyokka mu kutoloka okuva ne webaakoledde ettemu, amagye gabasindiridde ebyasi nabo nebafa.