Abakozi abeekalakaasa olw’omusaala omuzungu abavujjirira bonna abagobye
Abakozi b'ekitongole ky’obwannakyewa ki Restoration Gateway e Kiryandongo betwakulaze nga beekalakaasizza olw’okumala emyezi mukaaga nga tebasasulwa musaala, bagobeddwa.Mu kiwandiiko kyetulabyeko, bano bagobeddwa omutandisi w'ekitongole kino Dr. David Tim MacCall era ng'abalagidde okwamuka ekitebe ky'ekitongole kino e Kiryandongo obutasukka lwamukaaga lwa sabiiti eno.