Enjatika e Bulambuli zikosezza eddwaliro n’ennimiro z’abatuuze
Waliwo abatuuze mu District y’e Bulambuli abawanjagidde gavumenti okubafunira ekifo eky’ekiseera we bayinza okubudamizibwa oluvanyuma lw’ettaka kwebawangalira okujjamu enjatika nga kiva ku nkuba efudemba ensangi zino.Enjatika zino zitwaliddemu n’ebizimbe by’eddwaliro erimu mu disituliki eno, era okusinziira ku batuuze singa gavumenti tebaduukirira mu bwangu bandigwa mu katyabaga k’okuyiigulukuka kw’ettaka.