“Engalo kwolwo ssaazinaaba,” omusomesa eyayaniriza Paapa e Munyonyo akyalunyuma
Mu bannayuganda abataali bakungu abaafuna omukisa okusisinkana Paapa Francis kati omugenzi, lwe yakyala kuno mu 2015, mulimu Omusomesa wa Pulayimale Bernadette Nabakiibi Kalumba omutuuze w’e Kawuku Ggaba. Nabakiibi atubuulidde nti Paapa bweyamukwata mu ngalo teyazinaaba kwolwo ng’atya okusimuula omukisa gwe yali afunye, nti n’okutuusa essaawa ya leero waliwo abantu abagenda gyali nga bamusaba abasseeko emikono nabo bafune ku mikisa ogwo. Herbert Kamoga yawayizzamu n’omusomesa ono.