Paapa ki addako? Baabano abamu ku bakalidinaali abatunuuliddwa
Mu kaseera kano entebe y’obwa Paapa nkalu newankubadde nga ekuumwa Cardinal Kevin Farrell. Omuwaatwa guno guwadde abakatoliki mu Vatican n’ebweru waayo akadde okutandika okukuba ttooki mu ba kalidinaali nga banonyaamu abayinza okuba ku mwanjo gw’okusikira Paapa Francis.Kati mu buufu obwo,waliwo ba kalidinaali betukubyemu tooki abayinza okufuuka ba paapa.