Okusanyusa Paapa, Bobi Wine ajjukira engeri gye yaayiiya oluyimba mu bwangu
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi oba Bobi Wine y'omu ku bantu ab'olubatu abaafuna omukisa okusanyusa omutukuvu Paapa Francis nga yeyambisa ekitone kye eky'okuyimba mu mwaka gwa 2015 Paapa bweyagenyiwalako kuno. Mu mboozi eyakafubo naye, Bobi Wine atubuulidde nti tekyamutwalira budde kuyiiya luyimba luno era atubuulidde bye yasinga okussaako essira ng’aluyiiya.