Ttiimu ya Uganda CUBS, Ssenyondo ayogedde ekyabayembye okukiika mu z’ensi yonna
Gyebuvuddeko ttiimu y'eggwanga ey'abalenzi abali wansi w'emyaka 17, Uganda cubs yakoze ebyafaayo bweyesozze empaka z'ekikopo ky'ensi yonna, FIFA World Cup.Essuubi ly'abawagizi lyali likeeye, ttiimu eno bweyakubwa eggoolo 4 ku bwerere mu mupiira gwe yasooka okuzannya ne Morocco, wabula mu ngeri ey'ewuunyisa baasobodde okukuba Gambia eggoolo 2 ku ggoolo emu nebayitawo.Omusasi waffe , Sharifah Nambi awayizzaamu n'omutendesi wa ttiimu eno, Brian Ssenyondo ku lugendo lw'abwe o;w’abatuusizza ku bwanaggwano