Essomero lya Acinga PS limaze emyaka 71 nga litawaanyizibwa entalo n’obulumbaganyi
Mu district y’e Kapelebyong eriyo essomero erimaze emyaka 71 nga liggalawo bwe liggulawo olw’abazadde n’abayizi abaddukanga olw’obulumbaganyi bw’abanyazi b’ente wamu n’abayeekera ba Kony. Olw’akalembereza akaliwo kati, essomero lirina essuubi nti ligenda kukula newankubadde likyali mu mbeera mbi.Lino era Ly’essomero lyokka eririisa abaana ekyemisana mu district y’e Kabelebyong newankubadde eno balya nnyo kasooli omutokose..