Faridah Nambi ne Elias Nalukoola basisinkanye: Nalukoola ayagala kulayizibwa aweereze abaamulonda
Elias Luyimbazi Nalukoola nga ye mubaga omulonde owa Kawempe North, asabye akakiiko k'eby'okulonda okwanguyirizaako okumulayiza nga akyayokya atandike okuweereza abantu be abaamulonze.Nalukoola abadde mu kusaala Juma ku muzigiti gwa Kawempe-Mbogo, era ng'eno yeegatiddwako munnaNRM gweyawangula Farida Namabi, ne Muhammad Mutazindwa nga naye yavuganya mu kalulu kano.Faridah Nambi ye akyekwasa nti emivuyo egyali mu kulonda kuno nga gikulemberwamu ab'ebyokwerinda gy'atta emikisa gye okuwangula nga kale ayagala okunoonyereza omukulembeze kwe yalagira kwanguyirizibweko emmeeme eryoke emutebenkere.