Kkooti y’amagye: bannamateeka abagiwolezaamu bagyekokkola
Abamu ku bannamateeka abawolezaako emisango mu kkooti y’amagye, bagamba mpaawo kirungi kyebagenda gijjukirako kubanga kubanga enkola yaayo ebakaluubirizza emirimu gyabwe n’esukka. Mu bano mwemuli n’abo abaatuka okwenyiwa omulimu gwabwe, nga kati bagamba kkooti eno keyaggiddwako obuyinza baakuddamu okweyagalira mu kiseewe ky’ebyamateeka.