Gen. Katumba agamba abazadde babasibirire abaana emmere
Minisita we byenjigiriza Janet Kataah museveni ayagala abazadde bafeeyo nnyo okusibirira nga abaana baabwe emmere nga bagenda ku masomero baleme okusiiba enjala naddala ku masomero aga gavumenti. Mu bubaka bwatisse Minisita we byengudo Gen Katumba wamala, Minisita agamba nti omwana asiibye enjala tayinza kusoma bulungi kale nga ayagala gube mutawaana gwabazadde okufuba okulaba nga abaana baabwe waakiri ku simomero bagenda balina eky’okulya. Bino abyogeredde ku mu ggombolola ye Bbaale e Kayunga ku kitebe ky’obusabadinkoni bwa Bbaale ku kanisa ya St. Andrews Church ku mukolo gw’okugulawo ekizimbi ky’esomero lino lya St. Andrew’s C/U pris sch ekyazimbiddwa omujaasi wa UPDF Maj. Gen. Apollo Kasiita Gowa.