Gavumenti esiimye akulira enzikiriza y’obumu
Omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga z'ebyobufuzi Ruth Katushabe asiimye omukulembeze w’enzikiriza y'obumu Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka olwokusomesa obumu mu banayiganda kyagamba nti kisobodde okukendeeza ku bumenyi bw'amateeka wamu nenjawukana mu mawanga. Mu kwogera kw'omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka asabye abagoberezi be bona okwogera amanyi mu nkukola kwosa nokutadikawo amakolero amatono. Bino bibadde ku mukolo ogwategekeddwa ab’enzikiriza y'obumu oguyindide ku kyalo kapapi mu town council ye kigorobya mu district ye Hoima.