Volleyball: Sport-s y’emu ku zigenda mu za Africa
Kkiraabu y’abakyala ey’omuzannyo gwa Volleyball emanyiddwa nga Sport - S y’emu ku kkiraabu za Uganda ez'abakyala ettaano ezigenda okuttunka mu mpaka za kkiraabu za Africa ezimanyiddwa nga CAVB Volleyball Club Championship. Ku mulundi guno Uganda yegenda okukyaza empaka zino ezigenda okwetabwamu kkiraabu z’abasajja n’abakyala okuva e Kenya, Tanzania, Rwanda, Burundi ne South Sudan okuva nga 26 omwezi ogw'okubiri okutuuka mũ gw'okusatu nga nnya. Abakyala ba Sport-S tubasanze ku kisaawe kyabwe e Nsambya nga beetegekera empaka zino era tuwayizaamu nabo.Ssentebe wa disitrict Peter Banura alagidde abazadde okukwatizaako amasomero naddala aga gavumenti nga bwebalinda.