Moses Murungi afunye ddigiri nga talina mikono na magulu
Abazadde bangi abalina abaana abaliko obulemu, abalowooza nti bbo tebalina kyebayinza kufuuka mu bulamu bw'ensi eno. Abamu tebabasindika na kumasomero olw'endowooza eno.Moses Murungi, nga wa myaka 23 yazaalibwa talina mikono wadde amagulu, wabula olwaleero asobodde okutikkiriwa ddigiri mu byenfuna ku ttendekero ly'e Kyambogo.Bazadde be batubuulidde nti nga bamuzadde, mikwano gyabwe n'enganda baabawa amagezi omwana ono bamutte, kubanga yali wakukaluubiriza obulamu bwabwe.