Mpuuga n’ab’ekisinde kye basisinkanye abakulu mu FDC e Najjanankumbi
Akulira Ekisinde ki Democratic Alliance, Mathias Mpuuga leero asisinkanye abakulu mu kibiina ki FDC e Najjanankumbi n’ekigendererwa eky’okulaba nga bagatta amaanyi okubaako bye bakyuusa mu kisaawe ky’obufuzi.Essira bano baakuliteeka ku nnongosereza mu mateeka g'ebyokulonda n'ebyokukyusa obukulembeze mu mirembe.