Nalubaale ali mu bulabe, kasasiro w’e Nkumba mw’akulukutira
Ekitongole ki NEMA kiwade abakulira tawuni kanso ye Katabi sabiiti bbiri zokka okuzimba olukomera ku kifo awayiibwa kasasiro e Nkumba nga kino kiddiridde okukizuula nti kasasiro ayiibwayo atandise okukulukutira mu Nyanja.Tukitegedde nti kasasiro kko n'amazzi agava mu mu kasasiro ono galudde nga gasibira mu Nyanja, ekitadde obutonde bwensi mu bulabe.Mu kaseera kano kasasiro akunganyizibwa okuva mu kibuga Ntebe yekka yakkirizibwa okuyiibwa mukifo kino.