NAZZIKUNO :Engeri ekyoto gye kyayamba ng’okubuulirira abaana
Nazzikuno ng'omwana omufirika na ddala wano mu buganda abuulirirwa okumufuula omuntu mulamu, omukozi, omuvumu era omuzira.
Kino kyakolebwanga mu bifo eby'enjawulo naye okusinga EKYOTO ly'eggunjuliro eryakiranga gonna.
Wano abaana n'abavubuka baatuzibwanga nga buwungedde abakulu nebababuulirira ku bintu bingi nga bayita mu ngero, ebikokyo, ebikokko n'ebirala.
Olwaleero katulabire ddala ebbanguliro lino bweryabeeranga.