Okuzzaawo olutindo e Manafwa : Abatuuze n’omubaka Werikhe beekwatiddemu
Abatuuze be Bulako mu Ggombolola ye Sibanga mu disitulikiti ye Manafwa basazeewo okwekolamu omulimu okuzzaawo olutindo lwabwe olwatwalibwa amazzi emyaka egiyise.Bulijjo bano beeyambisa mbaawo okusala omugga Busanza ze bagamba nti zibadde ziteeka obulamu bwabwe mu matigga nga waliwo n’abantu 10 abazze bafiirawo nga bagezaako okusala omuli n’omuyizi wa siniya eyokuna. Nga bayambibwako omubaka waabwe ow’ekitundu Christopher Peter Werikhe, abatuuze baguze ebigoma n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu kuzimba olwo nebatandika okuzzaawo olutindo luno.