“Omukazi Abadde Ankuba” Prof Kateregga ayogedde ku bufumbo bwe ne mukyala we Jolly
Omutandisi w’ettendekero lya Kampala University Professor Badru Kateregga azzeemu okukaatiriza byazze ayogera nti mukyala we Jolly Shibaihah Kateregga aludde ng'amutulugunya omuli okumukuba n'okumugoba mu maka ge agasangibwa e Buziga. Ono akakasizza nti ye ne mukyala we tebakyalima Kambugu wabula n'asambajja ebigambibwa nti mukyala we ono ali mu lukwe lw'okweddiza ettendekero lye yatandika. Kyokka Omukyala ono gyebuvuddeko yegaana eby'okukuba bba ng'agamba nti byali bigendereddwamu kumusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo.