“OYO ALI KU BIBYE”; NUP eyogedde ku bya Mpuuga okwogerezeganya ne Museveni
Ab'ekibiina ki NUP, Mathias Mpuuga mwava wabula nga yafuna obutakkaanya nabo, bamutemye akakule olw'enteekateeka ze ez'okwogerezeganya n’ekibiina ki NRM ekikulemberwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku ky'okukyusa obuyinza mu mirembeSsaabawandiisi w'ekibiina kino Lewis Rubongoya agamba nti Mpuuga ali mu kwekwata ku bisubi wabula ng’ekituufu ekirina okukolebwa akimanyi bulungi.Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola eyali munna DP naye ategeezezza n'enteekateeka Mpuuga zaayogerako bwezaalema neyali mukama we Nobert Mao.