“Teri yayingirira byuma byaffe”; abakulu mu bbanka enkulu batangaazizza ku ssente ezaabula
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko ka palamenti akalondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti ka COSASE, bagamba nti bayise abakulu okuva mu bbanka ya Uganda enkulu ssaako n’okuva mu minisitule y’ebyensimbi okulabikako gye bali olunaku olwenkya, okubannyonnyola engeri gye bawaayo ssente z’omuwi w’omusolo kumpi obuwumbi amakumi ataano eri bbanka bbiri mu mawanga ag'enjawulo.Tukitegedde nti bukya ssente zino zisindikibwa, kifuuse kizibu okuzifuna kyoka nga zaagenda mu bifo ebikyamu.Akakiiko kabadde kasisinkanye abakulu okuva mu bbanka ya Uganda ababakasiza nti ddala ssente ezoogerwako zagenda mu makubo amakyamu kyoka baliko zebasobodde okuzza.