UCC eyogedde lwaki kizibu okulondoola abayimbi abawemula
Abakulu mu kakiiko akavunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mayengp g’ebyempuliziganya ka Uganda Communications Commision bategeezezza nga bwe waliwo okunoonyereza okugenda maaso ku nsonga y’abayimbi abasongeddwamu olunwe okufulumyanga ennyimba ezirimu ebigambo ebiwulikika nga byesitazza.Ayogerera akakiiko kano Ibrahim Bbosa agambye nti akadde konna baakutegeeza eggwanga ebinaaba bivudde mukunoonyereza kuno saako n’ekinaaba kisaliddwawo.Kyokka alaze okutya olw’emiwaatwa egiri mu tteeka mwebakolera eritabasobozesa kulondoola mikutu emigatta bantu egy’abantu ssekinoomu kubanga bakizudde ng’eno obubaka obukontana n’empisa ennungi gyebusinga okuyitira.