“Yamenyebwa mu bukyamu, ” kkooti ejulirwamu esaze eggoye ku by’ekkanisa ya St. Peters Ndeeba
Kkooti ejulirwamu ekikkaatirizza nti okumenya ekkanisa ya St. Peters mu Ndeeba mu March w’omwaka 2020, kyakolebwa mu bumenyi bwamateeka.Mu nsala yaabwe abalamuzi ba kkooti eno okuli Irene Mulyagonja, Oscar Kihika ne Kazibwe Kawumi balagidde gavumenti obutafulumya yadde ennusu eri omusuubuzi Dodoviko Mwanje okutuusa ng’omusango ogwawawaabirwa abaana b’omugenzi Evelyn Nachwa eyawaayo ettaka eri ekkanisa eno, gumaze okuwulira .