ZUNGULU
Wiiki eno yonna eggwanga ligimaze mu kukungubagira eyali sipiika Jacob Oulanyah. Newankubadde nnaku na biwoobe, kino tekyarobedde beegwanyiza ntebe ye kuvaayo mu lwatu. Ye Loodi Meeya Erias Lukwago, essanyu lyalina lya nkyukakyuka ezaakoleddwa mu ba RDC, eyamubadde obubi nebamukasuka e Yumbe.