ZUNGULU:Abalamazi abaabadde e Namugongo, omwaka guno ate gwabanyumidde nebakatagga
Abalamazi abaabadde e Namugongo, omwaka guno ate gwabanyumidde nebakatagga. Eby'okulya n'okunywa baabifunye mu bungi gattako endongo eyakubidde wiiki nnamba nga tesalako. Kyokka abatuuze b'omu Kampala abalinnyawo boda nga batuuse e Namugongo, basabye gavumenti efune engri gye yeetikangamu ekiggwa ky'abajulizi buli mwaka ekitwaleko mu bifo ebirala nabo bafune omukisa ogulamaga.