8 Balondeddwa mu kkooti ejulirwamu, 21 mu kkooti enkulu
Abadde akulira abalamuzi ba Kkooti enkulu Flavian Zeija alondeddwa ku bumyuka bwa ssaabalamuzi w’eggwanga okudda mu bigere by’omulamuzi Richard Buteera agenda okuwummula mu gwokuna omwaka guno ng’akoonye emyaka nsanvu. Ng’oggyeko omulamuzi Zeija, omukulembeze w’eggwa era aliko abalamuzi munaana balondedde mu kkooti ejulirwamu era nga yetaputa Ssemateeka so nga abalala 21 balondeddwa okugira nga bakolanga abalamuzi ba kkooti enkulu okumala emyaka ebiri Abalamuzi abalonde bakakasiddwa omwogezi w'essiga Eddamuzi, James Mawanda.