Emyaka gy’okusoma nnassale; bannabyanjigiriza n’abazadde bakubaganye empawa
Ekiteeso ekyasembeddwa akakiiko akalondoola ebyenjigiriza ka Education Policy Review Commiision okukendeeza emyaka abayizi gye basomera nursery okuva ku myaka essatu okutuuka ku gumu , nabaan aokutandika okusoma ku mwaka etaano oba mukaaga, kireesewo okukubagana empawa mu bannabyanjigiriza n'abazadde. Abakiwakanya bagamba kino kigenda kubaviirako okufiirwa emirimu olwebbanga lyebalina okubeera nabaana baabwe e waka, so ng'abakiwagira bagamba kyakwongera okuyamba abazadde okutuukiriza obuvunanyizibwa bwaabwe awamu nokutereeza ebyenjigirza bye ggwanga.