Ensisinkano y’abaka ba NRM; ensala ya kkooti ensukkulumu esuubirwa okwogerwako
Ababaka ba NRM wetwogerera nga bali mu nsisinkano n'e ssentebe w'ekibiina kyabwe era omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni mu maka g'obwa Pulezidenti e Ntebe . Ensisinkano eno esuubirwa okwogera ku nsonga ezenjawulo omuli engeri y'okutuukirizaamu manifesto y'ekibiina, enkalala z'ekibiina mpozi n'enteekateeka z'okulonda. Abamu ku babaka betwogeddeko nabo nga basimbula okugenda mu nsisinkano eno ku palamenti, batubuulidde nti n'ensala ya Kkooti Ensukkulumu eyaggyawo obuyinza bwa kkooti z'amagye okuwozesa emisango egya nnaggomola, kyakubeera ku mwanjo.