Abakugu muby'emjigiriza bawakanye n'abasomesa
Bannabyanjigiriza basiimye akakiiko ka Education Policy Review Commision, olw’okulowooza ku ky’abaana okutandika okusoma nga bawezezza emyaka 5, n’okukendeeza ku myaka omwana gyamala mu pulayimale. Kino bagamba kyakwongera okunyweza omukwano gw’abaana n’abazadde baabwe olw’ebbanga ely’emya egyo gyebanaamala nga tebannaba kutandika kusoma. Kyokka bbo abasomesa abamu bagamba kino kigenda kutaataganya eby’enjigiriza mu baana.