Aba NUP abakyegwanyiza bakubaganyizza ebirowoozo
Ebbugumu lyenyogedde mu kaluu k'okujjuza ekifo kya mubaka wa Kawempe North omwali Muhammed Ssegirinya kati omugenzi. Olwaleero wabaddewo okukubaganya ebirowoozo mu beegwanyisa kaadi ya NUP ku kifo kino era nga kuno kuyindidde ku kitebe ky'e Kibiina kino e Makerere - Kavule.